Genesis 36

Ezadde lya Esawu

1 aBino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

2 bEsawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, 3ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

4 cAda n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; 5ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

6 dAwo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. 7 eKubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. 8 fOlwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

9Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10Batabani be baali:
Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
11 gBatabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
12 hTimuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
13Bano be batabani ba Leweri:
Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
14N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali
Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.

15 iBano be bakulu b’enda ya Esawu:
Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi,
16 jne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
17 kEnda ya Leweri mutabani wa Esawu:
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
18Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:
Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
19 lAbo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

20 mBatabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
21ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
22Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
23Batabani ba Sobali be ba
Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
24Aba Zibyoni, be ba
Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25Abaana ba Ana be ba
Disoni ne Okolibama omuwala.
26Bo batabani ba Disoni be ba
Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
27Aba Ezeri be ba
Birani, ne Zaavani ne Akani.
28Ate aba Disani be ba
Uzi ne Alani.
29Bano be bakulu b’enda za Bakooli:
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
30ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.

Bakabaka ba Edomu

31 nBakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33 oBera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
34 pYobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
35 qNe Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
36Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
37Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
38Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
39Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:
Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
41ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43ne Magidiyeri, ne Iramu.
Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.
Copyright information for LugEEEE